Jeremiah 22:10-12

10 aTemukaabira kabaka afudde
oba okumukungubagira,
wabula mukaabire nnyo oyo omuwaŋŋanguse,
kubanga taliddayo kulaba nsi ye nate.
11 bKubanga kino Mukama ky’agamba ku Sallumu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda eyasikira Yosiya n’afuuka kabaka wa Yuda naye n’atwalibwa. “Talidda. 12 cAlifiira eyo gye baamutwala nga musibe, taliraba nsi eno nate.”

Copyright information for LugEEEE